Ebyobusuubuzi

Baasi za awakula ennume zikyalina olugendo

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

awakula ennume

Baasi za awakula ennume zikyaalina ebizibu bingi eby’okukolako nga tezinadda ku makubo

Aba KCCA bakyagaanye okukkiriza baasi zino eziri mu 20 okusabaaza abantu .

Baasi zino zagyibwaayo aba pioneer nga bagaddwa kyokka nga zamala neziva ku makubo nga KCCA egamba nti tezayiise mu mitendera mituufu

Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti tebannalaba biwandiiko bikkiriza baais zino kukola era nga bakyabikolako

Bino babyogedde oluvanyuma lw abannanyini baasi zino okwemulugunya ku KCCA gyebagamba nti ekikola mu bugenderevu okulemesa baasi zaabwe okukola