Ebyobusuubuzi

Abe wa Kisekka

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

kisekka mkt

Abamu ku basuubuzi bomu katale kewakisekka bawakanyizza ekirowoozo ky’okumenya akatale kaabwe omulundi gumu nga kagenda okukulakulanyizibwa.

Nga bakulembeddwamu Hasad Bukenya bagamba nti singa abasuubuzi basangulwa omulundi gumu bandifuna ebizibu nga abasuubuzi b’omukatale ke wandegeya byebafuna nga era batya nti munamaggye Col John Mugyeyi yandikozesa akakisa kano okweddiza ettaka lino olw’enkayana zebazze babeera naye.

Bbo abakulembeze b’akatale kano baatandise dda okuteeka zi konteyina mu paaka ya Namayiba gyebagenda okugira nga bakolera nga akatale kaabwe bwekakyazimbibwa.

Okukulakulanya kuno kwakumalawo ezaakuno obuwumbi 141 okumala emyaka 5 ng’okuzimba kwakutandika omwaka guno oluvanyuma lwa KCCA okukakasa pulaani yaabwe.