Ebyobusuubuzi

Abasuubuzi mu Owino basattira

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Owino Market

Abasuubuzi baddukanyiza egyaabwe mu katale ka St Balikuddembe emitima gibali ku mutwe

Bano olunaku lwaleero basisinkanyeemu KCCA mu kawefube w’okutaasa akatale kaabwe

Kiddiridde aba Banka ya Barclays okubawa nsalessale w’omwezi ogujja okuba nga basasudde obuwumbi 6 bwebabanja oba ssi kkyo bakwezza ekyapa ky’akatale

Wansi w’ekibiina kya Slowa, abasuubuzi bagamba nti KCCA y’erina okubataasa n’efulumya ekyapa kubanga kyekivuddeko obuzibu.

Bano olukiiko lwebabaddemu tebalina kyebasazeewo nga bakuddamu okusisinkana okulaba ekiyinz aokubataasa