Ebyobusuubuzi
Abasuubuzi balajanidde Kcca
Bya Shamim Nateebwa, Abasubuuzi mu katale k’e Wankulukuku balaajanidde KCCA n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, okubayamba ku kizibu ky’emyala egiyita mu katale kano kuba mikyafu ekileetedde abamu okulwalanga
Bano nga bakulembedwamu Ssentebe wa katale Emmanuel Mwiri bategeeza nti akatale kano kalimu emyala esatu egikayitamu eminene ekivirako obukyafu obutewalika
Bongedeko nga mu budde bw’enkuba abantu abasula mu Kabowa bata kabuyonjo zaabwe olwo kazambi nagwera mu katale.