Ebyobusuubuzi

Abasiga ensimbi mu Uganda bakendedde

Ali Mivule

February 17th, 2014

No comments

frank ssebowa

Omuwendo gwa bizinensi ezatandikibwaawo omwaka oguwedde gwakenderera ddala

Alipoota efulumiziddwa ekitongole ekisikiriza bannaggagga mu ggwanga eraga nti emirimu 123 gyokka gyegyatandikibwawo

Ku gino ebitundu 20 ku kikumi gyegikyakola ate emirala gyagwa dda

Akulira ekitongole kino, Frank Ssebowa agamba nti kino kivudde ku mitendera emingi egiyitibwaamu okutandikawo bizinensi,n’ebbula ly’amasanyalaze ng’embeera tesikiriza bamusiga nsigo