Ebyobusuubuzi

Abakola seminti baakunyonyola lwaki ebeeyi erinye.

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Minista akola ku  by’obusubuzi omukyala Amelia Kyambadde ayise bunambiro abakozi ba seminti , bamunyonyole ekiviirideko seminti  okulinya ebeeyi.

Ono okuvaayo kidiridde  omubaka we Lugazi municipality Isaac Ssozi Mulindwa  okutegeeza palamenti nti ebeeyi ya seminti  erinye ebitagambika, kale nga ministry egwana kuyingira mu nsonga  nga zino.

Mukaseera kano ebeeyi ya seminti  eri wakati wa  40,000  ne  50,000 ,songa omwezi guno nga gwakatandika ebadde ku 29, 000 .

Kati Kyambadde agamba nti bano bandiba nga batandise okukweka seminti era nga yeetaga kino kikolebwe.