Ebyobusuubuzi

Abakinjaaji bacacanca

Ali Mivule

June 5th, 2014

No comments

ABBATOIR

Abakinjaaji okuva mu lufula enkulu mu ggwanga  bali mu kucacanca oluvanyuma lwa naggaga  Dan Katarihwa Akwatampola okujjayo omusango gweyali awaabwe mu kkooti nga ayagala okwezza ettaka okutudde lufula eno lyeyagula ku mugagga munne Hassan Basajjabalaba.

Ono akkanyizza ne Basajjabalaba olwo omusango nagugyayo mu kkooti

Katarihwa yekubira enduulu mu kooti nga ayagala abasuubuzi bomu lufula eno bamuke ettaka lino nga agamba baliriko mu bukyamu.

Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu  Andrew Basaija alagidde  Katarihwa asasule ssente z’abasuubuzi zebasasanyizza ku musango guno.

Twogeddeko ne munnamateeka w’abasuubuzi bano  Abdu Kiwanuka ategezezza nga eno bweri entandikwa ennungi eri abasuubuzi bano okufuna obwananyini obujuvu ku ttaka lino.

Kati kkooti yakuddamu okutuula nga 30 omwezi guno okuwulira omusango omulala ogwaabwa abasuubuzi nga bawakanya Basajja balaba okweddiza ettaka okuli lufula eno .