Ebyobusuubuzi

aba owino bazzeemu okusonda

Ali Mivule

September 16th, 2014

No comments

Owino mkt

Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe olwaleero basisinkanye okuteesa ku ngeri gyebanasasulamu obuwumbi obusoba mu busatu zeebeewola mu DFCU nga kati zituuse ku buwumbi 6.

Abasuubuzi bano batudde ku mpiso nga bandifiirwa ettaka lyebaagula mu Kisenyi okusengukirako nga bwebazimba akatale olw’ensonga y’ebbanja lyebafuna okwetuuma

Akulira abasuubuzi Godfrey Nkajja agambye nti babaawa okutuuka mu mwezi gwa November omwaka guno okuba nga basasudde ebbanja

Abasuubuzi abasoba mu 5000 kati basazeewo okusasula akakadde kamu buli omu okutaasa ettaka lyaabwe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *