Ebyobusuubuzi

Aba baasi bongedde okutabuka

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

 

Bus parks
Abavuzi ba zi baasi nga beegattira mu kibiina kyaabwe ekibataba baweze okwediima KCCA k’egenda maaso n’okulemerako ku kubakuba engassi gyebatakkiriziganya nayo n’okubabinika emisolo emipya.

Ezimu ku nsimbi eziteesebwako kwekuli okusasula emitwalo 54 buli mwezi, nga ate abo abattikira awatali paaka ya zi baasi naabo abamala gawoganya ngombe mu kibuga balina okusasula emitwalo 3.

Kati ssabawandiisi w’ekibiina kino Willy Katende agamba KCCA emala gasalawo bintu awatali kubeebuuzako kyebatayinza kukkiriza kubanga kyandibalemesa emirimu.

Wabula bbo aba KCCA bagamba kino bakikoze kulungamya byantambula mu kibuga wakati.