Ebyobulamu

Teri Kabuyonjo e Lwengo

Ali Mivule

September 22nd, 2014

No comments

old toilet

Ab’ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo benyamidde olwa kabuyonjo z’olubatu eziri mu bitundu ebitali bimu

Akulira okulondoola ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo David Mugabi agambye nti okunonyereza kwebaakoze kulaga nti abantu ebitundu 20 ku kikumi beebalina kabuyonjo.

Ono agamba nti ebimu ku bifo ebisinga okuba obubi kwekuli Kingo, Kisekka ne Lwengo Rural.

Ono agamba nti abantu bangi bakyaama mu nsiko  ate abalala basima binnya mwebagenda

Wabula abatuuze mu bitundu bino bagamba nti ebifo byebalimu birimu amazzi mangi nga tebasobola kusima mpanvu

Mugabi kyokka agamba nti bagenda kutandika ebikwekweto ebiggala amaka agatalina kabuyonjo

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *