Ebyobulamu

Omulwadde afudde lwakumulagajjalira

Ali Mivule

May 7th, 2015

No comments

health workers strike

Abatuuze be Mukono abenjawulo bavuddeyo nga bemulugunya ku ddwaliro lya gavumenti mu kitundu erya Mukono Health Center IV olwobulagajjavu  mu basawo ekiviriddeko abantu abawera okufirangayo.

Bagamba abasawo  batono naye babogokka ngabamu bemulugunya neku bukugu bwabwe ekisubirwa nti abamu baba bayiga ate nebemorera ku bulamu bwabantu.

Abakozesa eddwaliro linno betwogeddeko nabo batubulidde ku mbeera gyebayitamu.

Wowulirira bino nga waliwo omuntu omulala eyafiridde  mu ddwaliro lya Mukono Health Center IV aboluganda lwomugenzi kyebagamba nti bwabadde bulagajjavu bwa basawo.

Omugenzi, Shakirah Namusisi owemyaka 20 abadde musubuzi mu kibuga kye Seeta, omutuuze we kiwanga mu Goma Division yatwalibwamu ddwaliro  ku lunaku lwa Sunday okuzaala , wabula natafibwako kuba tewabadde musawo asobola kumulongoosa  oluvanyuma lwokulemererwa okusindika omwana era nafa.

Kati aboluganda lwomugenzi abakulembeddwamu Swaibu Ssemwogerere nga ye kojja bagamba wabaddewo obulagajjavu obwamaanyi mu basawo.

Ono asubizza okugenda mu kooti kuba omwana waabwe Namusisi abadde anywera mu ddwaliro lino eddagala nti bandibadde bakizuula dda, tajja kusobola kusindika mwana era bagamba wabaddewo nokubalaata kungi mu basawo.

Dr Geoffrey Kasirye akulira eddwaliro linno erya Mukono Health Centre IV ategezezza nti kitufu omuwala ono yabafuddeko naye yabadde alina obuzibu ng’omukyala asooka okuzala atenga yabadde akyali muto oba Under Age, agamba babadde bategeka kumusindika mu ddwaliro ekkulu e mulago bamulogoose naye naffa kuba tebabadde na Ambulance mu budde obwo.