Ebyobulamu

Obupiira tebutuuka basajja

Ali Mivule

September 17th, 2014

No comments

Condom day distributor 2

Ab’ekitongole ekitereka eddagala bagamba abo bonna abeetaga obupiira bu gali mpitawa basobola okuwaayo okusaba kwaabwe mu butongole

Kiddiridde ababaka ba palamenti okuva ku bizinga okutegeeza ng’abavubi ku mwaalo gwe Senyi, Kiyindi ne Katosi bwebakozesa obuveera ne labbabbandi okwetangira ekirwadde kya Mukenenya.

Ayogerera ekitongole ekitereka eddagala n’ebyobulamu ebirala, Dan Kimosho agamba nti naye enviiri zamuvudde ku mutwe bweyawulidde bino kubanga tebategeezebwa nga ko nti abavubi tebalina bupiira.

Kimosho agamba nti balina kondomu ezimala mu masitoowa nga tewali nsonga lwaki ate abalala bakozesa obuveera

Kimosho agambye nti agutadde ku bakulembeze ku ma disitulikiti abalina okubategeeza ku bbula ly’obupiira nabo nebasitukiramu

Kko akakiiko ka palamenti akakola ku bulwadde bwa mukenenya kakutandika okugaba obupiira eri abazinga

Omubaka omukyala owe Kibuku Sarah Mwebaze kyokka agamba nti ekikolwa kino tekisaanye kulabibwa ng’ekitumbula obuseegu wabula ekikoleddwa okukuuma obulamu

Mu ngeri yeemu ababaka bano baddukidde mu kitongole ekikola ku mutindo ,eky’ebye ddagala kko ne minisitule y’ebyobulamu  okunyonyola lwaki obupiira obuli ku katale tebutuuka abasajja bamu nga bupatippabutippi

Akulira ababaka bano era nga ye mubaka we we Mbarara, Medard Bitekyerezo ategeezezza bannamauwlire nti waliwo abavubuka abamutuukiridde nga bemulugunya nti obupiira buno butono nnyo.

Ono alumiriza nti kino kikosa olutalo ku mukenenya kubanga obupiira bungi bwabiika

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *