Ebyobulamu

Etterekero ly’eddagala lya kokoolo

Ali Mivule

June 2nd, 2015

No comments

Cancer institute

Minisitule y’ebyobulamu efunye kkampuni egenda okuzimba ekifo omunaterekebwa eddagala erigema kokoolo wa nabaana

Yadde gavumenti yali eyagala eddagala lino litandike okugabwa mu gw’okuna, tekyasoboka kubanga tewali waterekebwa ddagala.

Kati minisita w’obujjanjabi obusookerwaako  Sarah Opendi agamba nti okuzimba etterekero lino kwakuggwa mu mwezi gw’ekkumi .

Kokoolo wa nabaana yoomu kw’oyo asinga okutta abakyala mu Uganda n’ensi yonna okutwaliza awamu.