Ebyobulamu
Eddwaliro ly’eMasaka teririna kukyuma kyokya kasasiro
Bya Malikh Fahad
Eddwaliro lye Masaka liri mu buzibu olwa kasasiro ava mu ddwaliro lino, oluvanyuma lwekyuma ekimwokya okufa.
Akulira eddwaliro lino Edward Kabuye agambye nti kati bakozesa emiwalo 10 buli wiiki okugula amafuta okwokya kasasiro ono.
Wabula alabudde nti waliwo nabaleeta kasasiro okuva ebweru we ddwaliro nebamugatta mu waabwe.