Ebyobulamu

Abafuuyira ensiri babanja

Abafuuyira ensiri babanja

Ali Mivule

June 30th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 369 abayamba mu kufuuyira eddagala ly’omusujja gw’ensiri mu disitulikiti ye Budaka tebasasulwanga

Abakozi bano abaweebwa emirimu minisitule y’ebyobulamu batandika okufuuyira ssaabbiiti ssatu emabega mu gombolola 13 kyokka nga tebasasulwangako

Akulira enteekateeka y’okufuuyira ebifo mu disitulikiti eno Robert Ochola agambye nti bafubye okuwaayaamu n’abakulu mu minisitule y’ebyobulamu naye nga tebayambibwa

Ochola agamba nti ng’ojjeeko abafuuyira, n’abakuuma eddagala lino mu masitoowa tebannasasulwa

Bano baali balina okufuna shs 9000 buli mwezi n’enkumi bbiri ez’okulabirira eggaali kwebatambulira okumala ennaku 30  nga ssente zaali zirina kussibwa ku akawunta zaabwe

Disitulikiti endala ezikoseddwa kuliko Kibuku, Pallisa, Namutumba, Serere, Bugiri, ne Butaleja

File Photo: Abafuyira ensiri

File Photo: Abafuyira ensiri