Ebyemizannyo

USL ne FUFA- abakulu bongedde okukwatagana

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

FUFA

Kiraabu  za Fufa super league olunaku lw’eggulo zaatudde mu kafubo nomukulembeze wa Fufa Moses Magogo nebakkiriziganya ku ky’okugenda mu maaso n’enteseganya ez’okuzza obumu mu mupiira gwa Uganda.

Magogo wiiki ewedde yasisinkana gavumenti  wamu n’abakungu ba Uganda Super liigi okutema empenda ez’okulaba nga liigi ya Uganda ekomyaawo bamusiga nsimbi aba Super sport wamu ne Bell.

Eggulo kiraabu zakirizza Magogo agende mu maaso n’enteseganya zino era nebalonda Mike Okua owa KCCA FC wamu ne Simo Dubajic owa Victoria University  okwegatta ku kakiiko akali mu nteseganya.