Ebyemizannyo

Pistorius gumusse mu vvi

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

 

pistoriuos

Omufubutusi w’embiro okuva mu ggwanga lya South Africa  nga omulema  Oscar Pistorius, asingisiddwa omusango gw’okutta muganzi we mu butanwa.

Bwabadde awa ensalaye, Omulamuzi  Thokozile Masipa ategezezza nga ono bweyeyisa mu ngeri y’obulagajavu n’akuba amasasi mu lujji lwa kabuyonjo ewaali   muganzi we Reeva Steenkamp n’amutta.

Yye Pistorius azze yeewozaako nga bweyakuba ebyasi bino nga ateebereza nti mubbi y’eyali amuyingiridde.

Omulamuzi y’ategezezza nga bannamateeka ba gavumenti bwebalemeddwa okuleeta obujulizi obulaga nti ddala Pistorius y’alina ekigendererwa ky’okutta muganzi we kale n’amugyako ogw’obutemu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *