Ebyemizannyo

Kipsiro yandisubwa egya Common wealth

Ali Mivule

June 16th, 2014

No comments

kipsiro

Kafulu mu kutolontoka emisinde, Kipsiro asemberedde okusubwa okwetaba mu mpaka za commonwealth games.

Kipisiro ono kitegerekese nga teyagenda kukyuusa bimukwatako mu ggwanga lya Scotland.

Ssabbiiti ssatu emabega, Kipsiro yajjibwa ku lukalala lw’ekibiina ekitwala abaddusi olw’abantu 18 abagenda okwetaba mu mpaka zino omwezi ogujja kyokka ng’olukalala luno lwagobwa era bwebatyo nebamuzzaako.

Yadde kino bwekiri ono ayolese obutetaba mu mpaka common wealth mu kibuga Glasgow

Kipsiro yafuna obutakaanya n’ekibiina ekitwala abaddusi oluvanyuma lw’okwogera ku bakulu mu kibuga kino abatuntuza abawala okubaleka ku nkalala.