Ebyemizannyo

Kiprop akubye ku matu

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Kiprop at Mulago

Omu kubaddusi ba Uganda abamannya  Jackson Kiprop ,kikakasidwa nga bwatandise okukuba ku matu.

Yatwalibwa mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’ensigo ze okufunamu obuzibu.

Mukulu wa kiprop ng’ono ye Michael Kusuro, atutegeezeza nti mu kaseera kano omulwadde bw’azzaamu essubi nga yanywedde ku butunda n’obuugi

Yye ayogerera eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira, atugambye nti kati Kiprop alinamu enjawulo, era nga ajjanjabibwa abasawo abakugu.

Ono obulwadde obutuuse n’okumukuba ku ndiri yabufuna nga bali mukutendekebwa  ne munne Steven Kiprotich mu kitundu kye Eldoret  mu gwanga lya kKnya