Ebyemizannyo

Empaka z’ebika – Ekisaawe kirambuddwa

Ali Mivule

August 12th, 2014

No comments

Bika kabaka

Minister webyemizannyo mubwakabaka bwa Buganda owekitiibwa Henry Sekabembe olunaku lwa’leero alambudde ekisaawe kya Muteesa 2 ekye’Wankulukuku nga o’Buganda bwetegekera okwaniriza Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi owokubiri kumpaka eziggulawo emipiira gyebika bya Baganda kulwomukaaga lwa week eno.

Katikiro wabuganda owek Peter Mayiga yasuubirwa okutongoza empaka zomwaka guno.

Emmamba Gabunga yegenda okuggulawo nebazzukulu ba Mutesasira ebeddira e’Ngo era emikolo egyokutongoza empaka zino zakulwakuna lwa week eno e’Mengo kubulange essaawa nunaana ezemisana.