Ebyemizannyo

Emipiira gy’ebika gyesibye

Ali Mivule

August 19th, 2014

No comments

Kabak and soccer

Akakiiko akategesi kemipiira gyebika bya Baganda kategezezza nga bwekagenda okutuula kasalewo kukyemipiira ebiri egitazanyidwa olunaku lweggulo wakati we’Mpologoma ne Omutima Omuyanja kwosa ogwo’Lugave ne Ngaali.

Team ya Ngaali ne Mpologoma tezalabiseeko wabula zawandiikidde akakiiko oluvanyuma lwokufuna Fixtures ekikeerezi era omuwandiise Mwami Kabunga ategezezza nga bwebagenda okutunula munsonga zino.

Emipiira gyakuddamu olunaku lwenkya nga Engabi Enyunga ezannya ne Mbwa kussaawa munaana ate oluvanyuma waddewo ekika kye’Nte ne Mamba Kakoboza mukisaawe e’Wankulukuku.