Ebyemizannyo

Ekikopo ky’ensi yonna- Eby’okwerinda binywezeddwa

Ali Mivule

June 9th, 2014

No comments

world cup

Poliisi ya kuno etegese okuvaayo n’amateeka amakakali aganaagobererwa mu kulaga emipiira gy’ekikopo ky’ensi yonna egigenda okutandika mu ssabiiti eno, okusobola okutangira emiranga egyaliwo  mu 2010

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2010, abawagizi b’omupiira abasoba mu 70 bafiira  mu bulumbaganyi bwa bbomu obwali e Kyaddondo Rugby grounds ne  Ethiopian village e Kabalagala bwebaali balaba empaka z’ekikopo ezakamalirizo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga, agambye nti buli kifo ekigenda okulaga empaka zino kirina okunyweza eby’okwerinda nga teri muntu yenna alina kukkirizibwa kuyingira nga takebeddwa.