Ebyemizannyo

Akabenje ku Kisaawe mu Brazil

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

sao paula

Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabadde ku kisaawe e Brazil.

Ekisaawe kino kimanyiddwa nga Sao Paulo nga kino kyekigenda okubaamu omupiira ogunaggulawo empaka z’ekikopo ky’ensi yonna

Omu ku baddukirize abayitiddwa okutaasa abantu agambye nti ekisaawe kino ekiri mu kuzimbibwa okutuukagana n’omutindo wa FIFA kiyiseemu nekibikka ababadde wansi

Eggwanga lya Brazil likkirizza okuba nga likubirira okulaba ntu ebisaawe byonna biwedde ng’empaka tezinnatuuka.