Amawulire

Eby’abasiraamu bigaane

Ali Mivule

October 14th, 2013

No comments

Kooti egaanye okuyisa ekiragiro ekiyimiriza ebigezo bya siniya y’okuna olunaku lw’enkya Ekibinja ky’abayisiraamu kibadde kiddukidde mu kooti nga kyagaala abayizi abayisiraamu bakkirizibwe okulya eid nga bali waka Abayizi beeboogerako beebali mu kukola ebigezo era siniya y’okuna Bano bakulembeddwaamu Sadic kakaire ne Isota Maguma gamba bagaala […]

Abasomesa beetondedde pulezidenti Museveni

Ali Mivule

October 11th, 2013

No comments

Abasomesa kyadaaki bapondose nebetondera pulezidenti Museveni Bano babadde basisinkanyeemu pulezidenti Museveni mu maka ge e Nakasero. Pulezidenti ategeezezza nga gavumenti bw’ebadde mu kawefube w’okuyigga ensimbi ez’okubongeza omwaka ogujja Pulezidenti akkirizza nti waliwo obuzibu bungi mu minisitule y’ebyenjigiriza nga waliwo abasasulwa omusaala mu bukyaamu kyokka nga […]

Enkuba egoyezza abe masaka

Ali Mivule

October 11th, 2013

No comments

Namutikkwa w’enkuba akadde okufudemba mu bitundu bye Masaka alese abantu 7 banyiga biwundu anti amaka agasoba mu 50 tegasigazza mmere Omwogezi w’ekitongole kya Redcross Catherine Ntabadde atutegezeezza nti bagenda kwongera okunonyereza ku muwendo gw’abantu abakoseddwa enkuba eno. Enkuba y’omuzira ezze nga egoya ebitundu by’omumasekati ga […]

Baasobya ku muwala kirindi

Ali Mivule

October 11th, 2013

No comments

Poliisi eriko abasajja 2 b’ekutte nga bano nzaalwa ye Pakistan . Bano kigambibwa okuba nga beebasobya ku mukyala munnayuganda ekirindi Ono yali mukozi waabwe. Abakwatiddwa ye Wangas Muhammed ne Ahmed Shabib nga bano omusango baguzza mu mwaka oguwedde. Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew […]

Besigye ne Lukwago- Poliisi ebavuddeko

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Kyadaaki poliisi eyabulidde  amaka ga col Dr Kiiza Besigye nga muno mw’ebadde ekuumira abavuganya gavumenti , okuva akawungeezi akayise. Bano bakwatiddwa poliisi olunaku lw’eggulo bwebekandazze nebabuulira awaabadde emikolo gy’ameefuga mu ku kisaawe e Rukungiri. Wabula twogeddeko ne lord mayor wa kampala ssalongo Erias Lukwago , […]

Okuwandiisa piki

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Olwaleero ekitongole kya KCCA  kitandise okuwandisa bodaboda mu kampala. Omukwanaganya w’enteekateeka eno  Robert Kalumba atutegeezeza nti buli kimu kitambudde obulungi ,era nga mpaawo kavuyo konna kabaddewo mu bifo 24 ebyatereddwawo okuwandiisibwamu boda zino. Mu bifo muno mwemuli ku ddwaliro lye  Kyanja, ku kitebe ky’egombolola ye […]

Ababaka bawangudde

Ali Mivule

October 10th, 2013

No comments

Kooti ey’okuntikko mu gggwanga eragidde ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM ,okusigala nga bakiika mu parliament Bakukikola okutuusa ng’emisango gyonna egibavunaanibwa giwedde okuwulirwa. Aboogerwako kuliko Theodore Sekikubo, Banabas Tinkasimire, Wilfred Niwagaba and Mohammed Nsereko ,nga bano beekubira enduulu mu kooti eno, nga bawakanya ekyasalibwaawo […]

Amefuga,Pulezidenti abakakasizza- Besigye ne Lukwago beetabye ku mikolo

Ali Mivule

October 9th, 2013

No comments

  Pulezident Museveni azzeemu okukinogaanya nga bwewatali musaala gwa kwongeza basomesa Bw’abadde ayogerera ku mikolo gy’amefuga e Rukungiri, Pulezident agambye nti mu kadde kano gavumenti erina ebintu by’esimbyeeko essira omuli eby’obuzimbi n’amasanyalaze kko n’enguudo n’asaba abagaala owkongezebwa omusaala okubeera abagumikiriza. Anyonyodde nti mu kaseera kano […]

Abakuumi ba Saracen beekalakaasizza

Ali Mivule

October 9th, 2013

No comments

Abakuumi mu kkampuni Saracen bavudde mu mbeera nebeekalakaasa Obuzibu musaala nga bafuna emitwalo 13 ne 14 zebagamba nti ntono nnyo ku mbeera nga bw’eyimiridde mu ggwanga Abakuumi bano abasoba ku 400 bakedde kugumba ku ofiisi za Saracen ku Lugogo By-pass Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, […]

Ssabasajja ku mateeka g’obutonde

Ali Mivule

October 8th, 2013

No comments

SSabasajja Kabaka ayagala wabeewo amateeka amakakali ku butonde bw’ensi Ng’ayogerera ku mikolo gya bulungi bwa nsi ku mbuga ya ssekiboobo ,omutanda agambye nti wakyaliwo obwetaavu bw’amateeka okuzibikira ebituli ebiriwo. Ayogedde ku nsonga ng’okusimba emiti ngagamba nti enteekateeka zino nnungi naye teziriiko kulungamya ng’ayagala y’azitumbula Emikolo […]