Amawulire

E Kamwokya bakyaama mu buveera

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Ng’enkuba egenda mu maaso n’okutonnya, abe Kamwokya bakaaba kabuyonjo Wetwogerera nga bano bakyaama mu buveera bwebanyugunya mu myaala ngenkuba etonnye Buno gyebigweera nga buzibikidde emyaala ate amataba negabaddira Abatuuze aboogerwaako beebabeera mu Zooni ya Kamwokya B ng’akulira ekitundu kino Ali Mutyaba agamba nti kabuyonjo eziriwo […]

Omwana attiddwa

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Poliisi ezudde omulambo gw’omwana ow’omwaka ogumu n’ekitundu e Kasokoso. Onono yattiddwa n’asuulibwa okumpi n’amaka ga bakadde be. Atiddwa yye Hamjad Katongole mutabani wa Akram Semata nga bano batuuze be Kiwanga Kasokoso. Ayogerera poliisi mu kampala nemiriraano Idi Ibin Ssenkumbi atugambye nti ebyakazuulibwa biraga nga bwewabaddewo […]

Abadde abba eddagala

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Omukyala ow’emyaka 40 agambibwa okuba nga yekobaana n’abasawo okubba eddagala e Mulago akwatidddwa Ategerekese nga Phoebe Nyangoma,ate ng’omusawo gw’abadde abba naye ne Racheal Kisakye Akulira poliisi ye Mulago Hashim Kasinga agamba nti omukyala ono bamusanze ne T-Shirt ng’azinzeemu eddagala ly’omusujja gw’ensiri Wabula omukyala ono gwebakutte […]

Abavuganya bategese enkungaana mu kibuga

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Ng’akakiiko ke by’okulonda kakyakugugubidde ku ky’okutegeka okulonda kwa Meeya omuggya, bannakisinde ekya For Go and Country( 4GC) bategese okukuba enkungaana mu kibuga kampala , balabule abantu ku kabi akakirimu. Bano bagamba nti bagenda kutabaala ekibuga nga babangula abantu  nga mu kaseera kano baakutandikira katwe  ku […]

Mukomye obulimba- Ssabasumba

Ali Mivule

March 17th, 2014

No comments

Nga ekereziya Katolika mu Uganda erindirira okukuza emyaka 50 bukya nga bajulizi ba Uganda batongozebwa mu lubu lwabatukirivu, Ssabasumba we Ssaza ekkulu erye Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga, asabye bannayuganda okuvaayo bo0lese amazima mu lutalo olw’okwongera okulwanyisa obulyake obukenuzi n’obufere. Ssabasumba asabye bana Uganda okutwala […]

Abantu 1000 bakosedwa enkuba e mubende .

Ali Mivule

March 16th, 2014

No comments

E mubende kikakasiddwa nti abantu abasoba mu 1000 okuva mu ma gombolola ana beebatalina wabegeka luba, wadde ak’okuzza eri omumwa, nga kino kidiridde namutikwa w’enkuba abade afudemba okubaleka esseke. Amagombolola agakoseddwa kuliko Bukuya , kalwana , Kassanda ne Bukuya . Ssentebe wa disitulikiti  ye Mubende […]

Ba ssemaka bakwatiddwa lwa kabuyonjo .

Ali Mivule

March 16th, 2014

No comments

  Mu  disitulikiti ye Luwuuka, abakola ku by’obulamu baliko ba ssemaka basatu  beebakutte ku kyaalo Budabangula okuli ne ssentebe w’ekyalo, nga bano basangiddwa nga tebalina kabuyonjo. Abakwatiddwa kuliko Ali kidongo, Fahad mukama  Devid Tenywa nga ono yye ssentebe w’ekyalo kino. Akola ku by’obulamu mu district […]

Omukuumi asse omwana.

Ali Mivule

March 16th, 2014

No comments

    E iganga omukuumi okuva mu kitongole ekya blue light ekikola ogwo’bukuumi, akubye amasasi omwana ow’emyaka 12 n’amuttirawo. Omukuumi ono ategerekese nga John Byavawala ,atemudde omwana ono oluvanyuma lw’okumujerega nti akutte emmundu ey’ekicupuli. Omugenzi ategerekese nga Isma Bugira, atemera mu myaka 12 gyokka, era […]

Bana beebali mu kamyuufu ka NRM

Ali Mivule

March 15th, 2014

No comments

Bannakibiina kya NRM abalala babiri bawandiisiddwa okuvuganya mu kamyuufu k’ekibiina Hajji Twaha Najja y’asoose okuwandiisibwa olunaku lwaleero era ng’ono asuubizza kibuga kisingako ekiriwo kati Ono addiddwaako Fred Kazibwe omusuubuzi mu Ndeeba nga yye agamba nti azze kumalawo bakulembeze abasuubiza empewo Yye kamisona akola ku by’okuwandiisa  […]

Ebipya ku nyonyi eyabula

Ali Mivule

March 15th, 2014

No comments

Ebipya byongedde okuzuuka ku nyonyi ya Malaysia eyabuze Sssabaminista w’eggwanga, Najib Razak agamba nti enyonyi eno yakyusa ekkubo mu bugenderevu nga n’enkola ekozesa okulondola enyonyi yattibwa mu bugenderevu Enyonyi eno oluvanyuma lw’okukyuusa ekkubo kigambibwa okuba nga yasigala ng’etabula okumala essaawa musanvu Entambula y’enyonyi eno yali […]