Amawulire

Olukiiko lwa taxi lugenda mu maaso

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Oluvanyuma lwabavuzi ba taxi okumala akabanga nga bemulugunya ku basirikale ba poliisi n’ebizibu ebirala, Minister wa Kampala Frank Tumwbaze ayise olukiiko bateese ku nsonga ez’enjawulo bazinogere eddagala. Omubaka wa Makindye eyobuvanjuba gyebuvuddeko yakwanga minister ekiwandiiko ku kwemulugunya kwaba taxi bano nga bawakanya empooza eyitiridde eri […]

Lukwago akyaleppuka n’emisango-gyongezeddwaayo

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Okuwulira okwemulugunya kwe ku ky’okugobwa ku bwa loodi meeya Kooti enkulu ekwongeddeyo okutuusa nga 25 omwezi guno. Kino kiddiridde banmamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwamu  Medard Lubega Seggona okusabayo akadde okwongera okwetegereza okwewozaako kwa ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi, minister wa Kampala  Frank Tumwebaze, ssenkagale wa […]

Eby’omusawo Namubiru bibi- Byeyayogera bifuuse bujulizi

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

kkooti ekKirizza okweneneya kw’omusawo Rose Mary Namubiru agambibwa okukuba omwana empiso ya siriimu nga amaze okwefumita. Namubiru yakirizza nga bweyafumita omwana ono ow’emyaaka ebiri n’kitundu n’empiso gyeyali amaze okwefumita nga ate alina siriimu wabula nti teyalina kigenderewa kyakusiiga mwaana ono iriimu. Omulamuzi wa kooti ya […]

Abali mu bifo ebirimu amafuta bakaaba

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Akakiiko k’eggwanga akalwanirira eddembe ly’obuntu kafulumizza alipoota namutayiika elambise nga abatuuze abaali bananyini ttaka ewasimwa amafuta mu districts ezenjawulo bwebaliyirirwa obusente obwomunyoto. Alipoota eraga nga abatuuze bano bwebasulwa wakati million satu n’ekitundu n’omusanvu okusinziira ku bunene n’ettaka werisangibwa. Abatuuze  bagamba zino ssente ntono nyo okusobozesa […]

Bonna basome ejjiddwa mu g’obwa nnanyini

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Mu kawefube w’okukendeeza ku nsimbi ezisaasanyizibwa, abayizi b’amasomero abasasulirwa State House bakutwalibwa mu masomero ga gavumenti. Akola kui nsonga eno mu state house , Lucy Nakyobe yategeezezza akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti nga bwebasazeewo bwabati.  Abo bokka abali mu bibiina ebigenda okutuula ebibuuzo […]

Eyakubwa amasasi awaabye

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Omukazi agambiba okukubwa amasasi poliisi mu 2002 akubye gavumenti mu mbuga z’amateeka nga ayagala aliyirirwe obyukadde 50. Rebecca Kajaaka Adyeri agamba nti nga  14th June 2002, bwyali mu wooteri ke wali ku  Luwum Street, abasirikale ba poliisi abaali bagoba ababbi bamukuba amasasi mu butanwa. Omukyaala […]

Lwaki Bukenya tafuna kasiimo-palamenti

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapresidenti batadde minisitule y’ensonga z’obwapulezidenti enyonyole lwaaki n’okutuusa kati eyali omumyuuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Baalibaseka Bukenya tanafuna kasiimo ke nga eyali omukiozi wa gavumenti. Omwaka oguwudde Bukenya yekubira enduulu nga bukyamga asuulibwa ku bw’omumyuuka womukulembeze w’eggwanga […]

Olukiiko lugudde butaka- Loodimeeya ayimbuddwa

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Olukungaana olubadde lutegekeddwa abavuganya gavumenti wansi w’ekisinde kya 4GC lugudde butaka Kiddiridde poliisi okubesooka n’eyiwa basajja baayo ku kifo awabadde walina okubeera olukiiko luno e Katwe ne mu maka g’abakulembeze b’abavuganya Omubaka we Rubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante agambye nti babadde tebasobola kugenda mu maaso […]

Ab’amafuta basanyukidde obukuumi bwa poliisi

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Kkampuni z’amafuta mu ggwanga zaanirizza ekya poliisi okubawa obukuumi. Olunaku lwajjo poliisi yategeezezza nga bw’egenda okwongera obukuumi eri abatambuza amafuta mu tanka oluvanyuma lw’abatujju okuddamu okuwera okulumba Uganda. Akulira kkampuni ya VIVO Energy Uganda Hans Paulsen agamba nti nabo batandikiddewo okwongera ku bukuumi okuziyiza ennumba […]

Ogw’omusawo guzzeemu

Ali Mivule

March 19th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gw’omusawo agambibwa okufumita omwana empiso n’ekigendererwa ky’’okumusiiga mukenenya kuzzeemu olunaku lwaleero. Dr. Richard Sekitoleko nga musawo mu ddwaliro e Mulago agamba nti Namubiru yandiba nga yakikola agenderedde. Ono agamba nti ssinga Namubiru yali tagenderedde ,yandibadde anaaza omwana ono mangumangu n’alagira ne bakadde be […]