Amawulire

Ttiyagaasi ku ssaawa ya kwiini

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

Poliisi ekubye omukka ogubalala mu bagoba ba taxi ababadde baggye emmotoka zaabwe okuva mu paaka ya USAFI okuzizza ku siteegi ya Kisansa. Abakoseddwa bebakwata olw’eMuyenga ne Kabalagala abakedde okuggya emmotoka zaabwe mu USAFI nga bekwaasa  balabidde ku banaabwe abe Gaba nabo abazzeeyo mu paaka yaabwe […]

Poliisi etabuse ku bakozi,

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Poliisi egenda kutandika okwetegereza kkampuni zonna ezigaba abakozi b’awaka Bino biddiridde akatambi k’omukozi we waka eyalabiddwaako ng’atulugunya omwana n’atuuka n’okumutambulira ku mugongo Jolly Tumuhirwe eyasoose okukaka omwana okulya yamukasuse wansi olwo n’atandika okumukubisa tooki nga tannamuwalampa ku mugongo kumulinnyako, ekikola ekyalese buli omu ng’asanyaladde. Akulira […]

Museveni yepenye abavuganya ne bannakyeewa

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni yepenye okukubaganya ebirowoozo ku kawefube w’okusaba nti okulonda kube kwa mazima na bwenkanya Teri era mukulu yenna kuva mu gavumenti yeetabye ku mukolo guno yadde nga pulezidenti yakakasizza nti y’ajja okuggulawo. Munnawulire wa pulezidenti Museveni Tamale Mirundi agamba nti mukama we abadde n’eby’okukola […]

Teri kutunda nyanja- bannabutonde baboggodde

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Enteekateeka za gavumenti okutundako ekitundu kye Nyanja Nalubaale eri bamusiga nsigo zijjeemu bannakyeewa omwaasi. Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi, Ruth Nankabiriwa yakakasizza nti bamalirizza enteekateeka z’okutundako enyanja okuleeta ensimbi mu ggwanika ly’eggwanga Nankabirwa agamba nti omugagga yenna anatwala enyanja wakuyiiya by’ayinza okukolerako omuli okulimira mu […]

Eby’eggaali birimu kigoye

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Bannayuganda bandikwata emisolo egiwera okuwa kkampuni egenda okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka Bino byogeddwa ababaka okubadde Theodore Ssekikuubo, Wilfred Niwagaba, Abdu Katuntu ne Barnabas Tinkasimire nga balabiseeko mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo luno. Ababaka bano bagamba nti engeri kkampuni y’aba China gyeyawebwaamu […]

Bamusse, omulambo nebagusibira mu nju

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Ebadde ntiisa, abatuuze bwebagudde ku mulambo gwa munnaabwe abadde yabula nga gusibiddwa mu nju ye Omugenzi ategerekese nga Lawrence Mulumba, omutuuze ku kyaalo Kasasa mu gombolola ye Kakuuto, Rakai. Omulambo gwa Mulumba gusangiddwa abatambuze abawulidde ekisu nga bano beebawaabye eri poliisi n’emenya olujji Omusajja ono […]

Eby’omwana Semaganda biranze

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Olukiiko wakati wa KCCA ne bazadde b’omwana eyatomerwa n’afa  terugenze mu maaso olwaleero. Maama w’omwana ono Ryan Semaganda nga ye Madina Namutebi agamba nti babadde balina okusisinkana KCCA olwaleero kyokka nebategeezebwa nti balina olukiiko olw’amangu lwebagendamu. Bano nno baliko endagaano gyebaakola ne KCCA okulaba nti […]

Abavuganya bawanda muliro

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

  Eyaliko senkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye ayagala akulira ekitebe ky’amawulire ekya gavumenti Ofwono Opondo akwatibwe Obuzibu bwonna buva ku bigambo bya Opondo nti abavuganya bangi beetaba mu bikolwa by’ekiyekeera. Opondo ono yagambye nti omuyambi wa Dr Kiiza Besigye Sam Mugumya yabakaksizza nti […]

Eyasomola ebyaama bya Kaihura akyatoba

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama bya mukamawe era ssenkagale wa Poliisi Gen Kale Kayihura kugudde butaka. Omusango guno gubadde gulina okuddamu okuwulirwa oluvanyuma lwa kkooti enkulu okulagira guwulirwe nga bannamawulire bakwaata buli kigenda mu maaso. Waliwo ekibinja ky’abannamawulire abekubira enduulu mu palamenti […]

Abalima ebimuli bya KCCA beediimye

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

Abalima mu bimuli bya KCCA bassizza wansi ebikola. Bano nga bali eyo mu  200 okuva mu division 5 wano mu kampala bagumbye ku kitebe kya KCCA basisinkanemu bekikwatako ku nsonga eno. Abamu ku bano abataagadde kwatukirizibwa mannya bategezezza nga bwebakamala emyezi 2 nga tebalaba ku […]