Amawulire

ZZiwa aboggodde- Sijja kulekulira

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

ZZiwa and Eid

Sipiika w’olukiiko lwa East African Margret Zziwa ategeezezza nga bw’atasobola kulekulira kifo kye wadde nga waliwo ababaka abazzeemu okubaga enteekateeka ez’okumujjamu obwesige.

Kino kiddiridde ababaka abamu ababadde mu lutuula e Rwanda okwemulugunya ku ngeri Zziwa gy’akolamu emirimu gye ng’abamu bamulumiriza okubasosola.

Wabula Zziwa agambye nti kati ataddewo akakiiko akagenda okunonyereza ku ngeri ababaka bano gyebeyisa naddala okuva mu ntuula za palamenti

Zziwa era agambye nti mu kisanja kye eky’emyaka ebiri akoze ebintu bingi omuli n’okuyisa amateeka.

Kinajukirwa nti kuntandikwa y’omwaka guno ababaka beebamu bagezaako okujja obwesige mu Zziwa naye enteekateeka zaabwe neziggwa butaka.