Amawulire

Zaake yagobebwa mu bukyamu kubwa Kamisona

Zaake yagobebwa mu bukyamu kubwa Kamisona

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah ne Juliet Nalwooga,

Palamenti ekkirizza okufuna ensala ekwata ku mubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake okuggyibwa kubwa kamisona bwa Palamenti.

Kkooti ya Ssemateeka olwaleero erangiridde nti omubaka Zaake yagobwa ku bwa kaminsona mungeri emenya amateeka kuba sipiika wa Palamenti teyayolesa bwenkanya.

Abalamuzi bataano nga bakulembeddwamu Catherine Bamugemereire, Eva Luswata, Irene Mulyagonja, Muzamiru Kibedi ne Osca Kihika basazeewo nti Sipiika wa Palamenti Anita Among, yasinzira mu lutuula nga ababaka tebawera yagoba Zaake ekintu ekimenya amateeka.

Kati Palamenti egamba nti essa ekitiibwa mu kusalawo kwa kkooti era egenda kusoma nókwetegereza ekiwandiiko kya kkooti balaba kyebazaako.

Sipiika Among, alumiriza Zaake okuyita ku mukutu gya facebook okumwogerako ebigambo ebiweebula ekitiibwa kye ne kitiibwa kya palamenti.

Nga 10th march 2022 ababaka bamukubako akalulu akamugyamu obwesige bwatyo nagobwa ku bwa kamisona kwekuddukira mu kkooti.