Amawulire

Yunivasite zeewolereza ku Masomo agaayitako g’ebasomesa Abayizi

Yunivasite zeewolereza ku Masomo agaayitako g’ebasomesa Abayizi

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Amattendekero agawaggulu wonna mu ggwanga gewolereza ku masomo agayitako ge basomesa abayizi ensagi zino.

Amasomo gano galambikiddwa ku mutimbagano gwa kakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher Education (NCHE).

Abamu ku bakulira University zino mu kwogerako naffe bagambye nti amasomo gabwe tegayitako nga bwe bigambibwa abakakiiko ate abalala banenya akakiiko kano okulemererwa okudamu okwekenenya amasomo gano mu budde.

Amyuka kyansala wa Mbarara University of Technology and Science (MUST) Prof Celestino Obua agamba nti bawaayo amasomo agagwako eri akakiiko ka NCHE okudamu okugetegereza wabula nokutuusa kati tebadibwangamu.

Ono tumubuuziza lwaki university yasigala esomesa abayizi amasomo gano agagwako edda nagamba nti nabo baali balinze kakiiko ka balungamye.

Mungeri yemu ye amyuka kyansala wa Kampala International University (KIU), Prof Mouhamed Mpeza-mihigo, agambye nti amasomo gabwe agaludewo gali mu kwetegerezebwa era nga bawaayo okusaba kwabwe eri akakiiko ka NCHE okugetegereza yadde nga tebanafuna kuddibwamu.

Abakulu okusatira kyadiridde empapula zobuyigiriza bwa bayizi okugaanibwa mu mawanga agabweru nga bagamba nti byebasoma tebiriiyo.