Amawulire
Yetuze lwakumuyeeya
BYA PATRICK EBONG
Waliwo Omusajja mu disitulikiti ya Oyam eyesse lwabantu kumuyeeya nti agwa ensimbu.
Patrick Odongo nga mutuuze ku kyalo Acan-ling abadde n’ekirwadde ky’okugwa ensimbu okumala emyaka egiwerako kuluno yasazeewo kwetuga.
Atwala poliisi ya Otwal Robert Okello atutegezezza nti musajja mukulu ono yaguze omuguwa ku dduuka n’ategeeza mukyalawe nga bwegunyuma okwetugisa era namulabula nti wakwetta kubanga banne bamuyeeya negyanywera amalwa.
Omusajja ono oluvanyuma yategezezza mukyalawe nga ebyokwetuga bweyabadde abivuddeko wabula ate omukyala kimwewunyisizza okumusanga nga yetugidde ku muti oguli okumpi n’amakage.