Amawulire

Yaffeesi ya pulezidenti yetaaga obuwumbi bwensimbi 3.2 okupangisiza abawi ba magezi eri M7 yafeesi

Yaffeesi ya pulezidenti yetaaga obuwumbi bwensimbi 3.2 okupangisiza abawi ba magezi eri M7 yafeesi

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Yafeesi yomukulembeze weggwnaga eyagala obuwumbi bwensimbi za Uganda 3.2 okusobola okupangisiza eyali amyuka omuk weggwanga  Edward Ssekandi, abaliko ba ssabaminisita Ruhakana Rugunda ne Amama Mbabazi nga kwogase eyali minisita webyokwerinda Eli Tumwine abalondebwa omukulembeze weggwanga nga abawi bamagezibe.

Okusaba kuno kwanjuddwa minisita omubeezi owebyenfuna Peter Ogwang bwabadde alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mbalirira.

Ono agambye nti enteekateeka ey’okupangisa ekifo ku kizimbe kya Kingdom Kampala zafundikibwa kati bali mu kwawulayawulamu yafeesi nga basuubira okumaliriza mu mwezi gwa gatonya omwaka ogujja.

Abalala abalondebwa okuba abawi bamagezi eri pulezidenti kuliko Amelia Kyambadde, Florence Nakiwala, ne Sarah Kanyike nábalala.

Bano mungeri yemu Bagala ensimbi obuwumbi 1.5 ezalabirira abagenyi ku mukolo ogwokulayiza pulezidenti nóbuwmbi 3.9 ezokuliwa ku misango egize gimegga gavt mu kkooti.