Amawulire

Wuuno omuwala sibira omwana mu nnyumba n’agenda okw’etunda

Wuuno omuwala sibira omwana mu nnyumba n’agenda okw’etunda

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2019

No comments

Poliisi eriko omuwala gwekutte ng’ono kigambibwa nti aludde ng’awa omwana ow’emyezi 9 eddagala erimwebasa n’amusibira mu nnyumba, n’agenda okwetunda.

Omukwate ye Evelyn Kansime owemyaka 19 mutruuze mu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe.

Ono kigambibwa nti abaddenga awa muwala we Sylvia Nabukenya amakerenda neyebaka olwo nagenda okwkolera ejigye mu bugge bwekiro.

Kati embeera y’omwana yeraliikirizza abasirikale, era bamututte mu ddwaliro e Mulago asooke afune obujjanjabi.

Isma Nsanja omumyuka wa ssentebe we kyalo agambye bazze balabula Kansiime obutasibira mwana mu nnyumba, nayenga eteyaddako.

Kansiime ategeezezza nti ekituufu yetunda wabula takikola lwa kwagala, abeera anoonya ssente okusobola okulabirira omwan we.

Kati ono aguddwako omusango gwokulagajjalira omwana.