Amawulire

Wofiisi za NRM e Mubende Zigaddwa nga Babanjibwa Obupangisa

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2017

No comments

Bya Magembe Ssabiiti

Wofiisi yekibiina kya NRM e Mubende egaddwa lwakulemererwa kusasula nsimbi ezobupangisa kati okumala omwaka mulamba nekitundu.

Ssentebe  wa NRM e Mubende, Joseph Kakooza nga ye mubaka we Buweekula akakasizza nga wofiis eno bweyagaddwa nga babanjibwa ensimbi ezisoba mu bukadde 3 zebatalina mukiseera kino.

Kino kidiridde abakulembeze  ba NRM okuva magombolola agenjawulo ababadde mu lukiiko lwe kibiina olugenderedwamu okutwala ekibiina maaso  okutabukira abakulira ekibiina olw’obutefirayo nga ekibiina kiwagira okukyusa ssemateeka we gwanga awatali kusooka kwebuuza ku bannansi, songa nabo ekibiina kyabwe kinafuwa enkituuka nokugobwa mu wofiisi.