Amawulire

Winnie Kiiza asabye abakyala bayambibweko mu kukulakulana mu by’ensimbi

Winnie Kiiza asabye abakyala bayambibweko mu kukulakulana mu by’ensimbi

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza, alaze obwetaavu obwokuwagira abakyala mu byensimbi basobole okuba ne mbavu ezetaba mu byóbufuzi.

Bino abyogedde ayogerera mu lukungana olwa bakwatibwako ensonga e’zokulonda kwábakyala nóbukiiko bwabwe olutegekeddwa ekibiina kya Netherlands Institute of Multiparty Democracy mu Kampala.

Kiiza, agambye nti olwa Uganda okufuula ebyobufuzi okuba ekyetunzi, abakyala abangi balemereddwa okwetaba mu byobufuzi nga tebalina nsimbi ezokudukanya kampeyini ate nga tebalina na bintu biyinza kukola ngómusingo mu banka okugyayo ensimbi

Wano wasabidde abakyala bakwatibwe ku mukono bakole emirimu egivaamu ensimbi basobole okuyimirira nábasajja mu kulonda nga tebalina kutya.