Amawulire

William Ruto alangiriddwa kubwa Pulezidenti mu Kenya

William Ruto alangiriddwa kubwa Pulezidenti mu Kenya

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssentebe wa kakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga erya Kenya Wafula Chemukati, alangiridde William Ruto ngómuwanguzi kuntebe eyobwa pulezidenti.

Ruto ammeze munne bwebabadde kumbiranye enyo owoludda oluvuganya Raila Odinga.

Ruto awangulide ku bululu obukadde 7 nomusobyo nga bukola ebitundu 50.49% ate Odinga afunye obululu bwa bitundu 48%

Ono azze mu bigere bya Uhuru Kenya.

Wabula mu kusooka wabaddewo obunkenke mu kifo kya bomas mu ggwanga rya kenya awategekedwa okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Kino kidiridde amyuka ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Juliana Cherera, okutuuza olukungana lwa bannamawulire nalangirira nga abakungu ba kakiiko ke byokulonda 4 bwetakkiriziganya nebyo ebigenda okulangirirwa ssentebe waabwe Chemukati Wafula.

Juliana ategezeza nti abanaba batakiriziganyiza ne birangidwa bagende mu kkkoti bafuna obwenkanya kuba nabamu ku bakakiiko tebakkiriziganyiza nabyo.

Ku kisaawe e bomas oluvanyuma lwa Cherera okulangirira bino wabadewo akavuvungano abakuuma ddembe nebagyawo ssentebbe wa EC Chemukati nabaleese esagaliko bakubiddwa emiggo.

Olwokaano lwabaddemu abavuganya 4 wabula ababadde enyo kumbiranye kuliko abadde omumyuka wa pulezidenti William ruto nowoludda oluvuganya Raila Odinga.

Odinga ku mukolo ogwokulangirira talabiseeyo abamunonyeza akalulu bategezeza nti waliwo byebatakkiriziganyiza nabyo mu kugatta ebyavudde mu kulonda.