Amawulire

Wiiki yabakiggala etandise Olwaleero

Wiiki yabakiggala etandise Olwaleero

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita owabantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe, Grace Asamo asabye gavumenti eteeke ku mwanjo olulimi olwobubonero eri abantu abatawulire, kubanga nsonga yaddembe lyabuntu.

Buno bwebubaka obugoberedde olunnaku, olwaleero nga Uganda yegasse kunsi yonna okuggulawo wiiki eyabakiggala oba Deaf awareness week.

Okusinziira ku Asamo, ba kiggala bangi abatusiddwako ebikolwa ebyokubakabasanya nobutabanguko mu maka olwobulemu bwebalina.

Agambye nti nobutabeera na bataputa olulimi, kibakuygira mu nsonga nnyingi naddala mu kufuna obuwereza bwa gavumenti.

Kati Asamo asabye poliisi ne minisitule yabakozi ba gavumenti okuteeka abataputa mu bitongole wonna, okuyambako okuwuliziganya nabantu.

Dr Edson Muhwezi, amyuka wkulira ekitongole kya UNFPA mu Uganda agambye nti ba kiggala okufananako ngabantu abalala mu gwanga betaaga okuweebwa eddembe lyabwe lyonna awatali kubolebwa.