Amawulire
Wiiki entukuvu etandise
Bya Benjamin Jumbe
Abakristaayo olwaleero batandise wiiki entukuvu, ekulemberamu amazukira g’omwana wa Katonda oba Easter.
Wiiki entukuvu eri abakirizza, ze nnaku wakati wa Sande eyamatabi eyabaddewo olunnaku lwe ggulo ne Easter, nga baliko obulombolombo bwenjawlo bwebetabamu okujjukira ebyaliwo.
Ebimu kwebyo kubeera kwejjukanya obulumi Yesu bweyayaitamu, ngagenda okukomererwa ku musalaba.
Mu lulimi oluyonaano nolulooma, mu kuyigiriza kwabwe abamu bajiyitala Great Week ssi Holy Week olwebirungi Katonda byeyayaoleka mu wiiki eno.