Amawulire

Wetunatukira 20230 nga uganda ekozesa Mmotoka zaámasanyalaze-Minisita

Wetunatukira 20230 nga uganda ekozesa Mmotoka zaámasanyalaze-Minisita

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2023

No comments

Bya Ronald Ssenvuma,

Gavumenti ekakkasiza bannaUganda nti wegunatukira omwaka ogwa 2030 nga ekisaawe kyebyentambula kikyuuse nga tuvudde kubidduka ebikozesa amafuta nga tuzze kubikozesa amasanyalaze.

Bino byogeddwa Minister avunanyizibwa Ku buyiiya science netekinologiya Monica Musenero bwadde alambika entekateeka ya sabiiti oyo kwolesa ebintu ebiyiyuziddwa bana Uganda era nebikolebwa wano nga sabiiti Eno eyitobwa science week

Musenero agamba nti mu kiseera kino waliwo ebintu biinji ebikoleddwa muggwanga lino era bana Uganda basaana babiwagire.

Takomye okwo ategeezeza nga bannasayansi bwebali mukukola kyona ekisoboka okuzuula eddagala eriwonya akawuka akaleeta mukenenya ne Kokolo

Ssabiiti ya sayansi, technologia n’obuyiiya yakutandika  nga 06 okutuuka nga 11 omweezi guno Ku kisaawe e Kololo