Amawulire

Wangandya agambye nti akolera mu kutya

Wangandya agambye nti akolera mu kutya

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ssentebbe owakakiiko aklera eddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission, Mariam Wangadya akawangamudde nti akolera mu kutya.

Bino yabitegezezza ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akeddembe lyobuntu, bwebabadde beyanjudde okunyonyola ku nkwata yeddembe ly’obuntu nebikolwa ebyokutulugunya abantu ebiwulirwa ebyeyongedde.

Wangandya agambye nti abantu balina engeri gyebamujeregereramu nokumuwebuula.

Wabula teyanyonyodde ddala biki ebimukolebwako, nayenga yagambye nti bimuletera okutya.

Mungeri yeemu ababaka ku kakiiko ka palamenti akeddembe lyobunt, bakunyizza abakungu okuva mu kitongole kyamakomera oluvanyuma lwokulemererwa okulaga ebikwata ku basibe abagambibwa okutulugunyizibwa.

Bano babadde bakulembeddwamu omuwandiisi wamakomera Samuel Emiku namyuka kamisona Samuel Akena.

Akakiiko kano kagenda mu maaso nokunonyereza ku bikolwa byokutuugunya abantu, ebigambibwa nti bibunye wonna mu gwanga.

Ssentebbe wakakiiko, omubaka Fox Odoi ne banne bewunyizza lwaki tewali kiwandiiko kyonna kyebalina ekikwata ku kwemulugunya, olwabasibe abasibe abatulugunyizibwa.

Wabula kasmiona Akena akanyizza kwegaana nti obuvunayizbwa bwabwe bukoma ku kufuna basibe nokubakuuma.