Amawulire

Wangadya ayaniriza ekiteeso ekyokugatta akakiikoke ne EOP

Wangadya ayaniriza ekiteeso ekyokugatta akakiikoke ne EOP

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akulira akakiiko ka Uganda Human Rights Commission (UHRC), Mariam Wangadya asanyukidde ekiteeso ky’okugatta akakiiko kano n’akakiiko aka equal opportunity’s commission.

Pulezidenti aludde ayagala ebitongole bya gavumenti ebirina emirimu egifanagana okugattibwa kibe kitongole kimu, nga agamba nti kino kijja kukekkereza obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente ezisaasaanyizibwa ku bitongole bya gavumenti ebifaanagana.

Wangadya agamba nti akakiikoke keetegefu okwegatta nga kabineti emaze okuyisa ekiteeso kino kubanga kino tekijja kukoma ku kukendeeza ku nsaasaanya ya gavumenti wabula n’okunyweza ekitongole.

Wabula abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bawakanya ekiteeso kino nga bategeeza nti akakiiko k’eddembe ly’obuntu kakola kinene nnyo mu kulwanirira eddembe ly’obuntu n’olwekyo kalina okulekebwa okukola nga keetongodde.