Amawulire

Waliwo abatandise okubba akalulu- Lumumba

Waliwo abatandise okubba akalulu- Lumumba

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo:Bana NRM mulukunywana

File Photo:Bana NRM mulukunywana

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Justine Lumumba Kasule alumirizza abamu ku baagala ebifo by’obukulembeze mu kibiina kino okukunga abantu okwewandiisa emiundi egisukka mu gumu mu kwewandiisa okugenda mu maaso.

Lumumba agamba bamanyi ekigenda mu maaso nga era bakukangavvula abakola kino.

Wabaddewo okwemulugunya ku kwewandiisa okugenda mu maaso nga kigambibwa n’abamu abatali bannakibiina bawanmdiikibwa.

Mungeri yeemu olukiiko lwa NRM olufuzi lutegezezza nga olukalala lw’ab’ewandiisa bwelusuubirwa okufuluma ku nkomerero ya wiiki eno.

 

Mu kiseera kino NRM ekyasengeka bikwata ku bewandiisa mu bitundu ebitali bimu okuli Arua, Gulu , Kampala n’ewalala.

 

Ssentebe w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda Dr.Tanga Odoi agamba enkalala enongosemu zezigenda okukozesebwa mu kamyufu k’ekibiina akabindabinda.