Amawulire

Wakayima akakasiddwa ngómubaka wa Nansana Municipaali

Wakayima akakasiddwa ngómubaka wa Nansana Municipaali

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa Hannington Musoke Wakayima Nsereko ngomubaka omulonde owa Nansana Municipality.

Kino kidiridde omulamuzi Henrietta Wolayo okuzuula nti Wakayima yasoma era nga alina ebiwandiiko byobuyigirize okuli ebya s.4 ne s.5

Obuwanguzi bwa Wakayima bwawakanyizibwa munne bwebavuganya ku kifo kino Hamis Musoke Walusimbi nga agamba nti talina mpapula za buyigirize ezimusobozesa okubeera mu palamenti.

Naye omulamuzi omusango guno agugobye era nalagira Walusimbi okuyiwa ensimbi zonna Wakayima nakakiiko ke byokulonda ze basasanyiriza mu muasngo guno.