Amawulire

Wafula Oguttu agaanye okwaatula abalya enguzi

Ali Mivule

August 13th, 2014

No comments

Wafula

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agaanye eby’okusindikirizibwa okwatula amanya g’ababaka b’oludda oluvuganya gavumenti abagambibwa okulya enguzi okuva eri gavumenti.

Wiki ewedde Oguttu aliko ababaka 18 beyalumiriza okulya obukadde 110 okusasula amabanja gaabwe.

Oguttu agamba abo bonna abamuteeka ku ninga okwasanguza amanya beebo abakukuta ne gavumenti.

Anyonyola nti  ssiwakutiisibwatiisibwa bantu balidde ssente ate nebadda mu kwebuzabuza.