Amawulire

Wabadewo akasatikiro ku Poliisi yé Lukaya ebigezo by’abayizi byatabuddwa

Wabadewo akasatikiro ku Poliisi yé Lukaya ebigezo by’abayizi byatabuddwa

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad, 

Wabaddewo okusika omuguwa ku poliisi y’e Lukaya amasomero gye galina okujja empapula z’ebigezo bitwalibwe mu masomero gwekizuuse nti ebimu bibadde byagabiddwa wakyamu.

Okusika omuguwa kuno kwalese abakulira amasomero n’abakulembeze ba disitulikiti nga basobeddwa okumala essaawa eziwera okutuusa lwe baazudde nti ebigezo byasindikiddwa mu mugombolola ezenjawulo. ey’enjawulo.

Abakulira amasomero 41 bebabadde bazze ku Poliisi y’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalungu, okukima empapula z’amasomero gaabwe.

Okusinzira ku mubaka wa gavt atuula mu disitulikiti ye Kalungu, Miriam Mugisha Kagiiga baakizuudde nti empapula z’ebigezo by’essomero lya Emanuel Christian Primary school zaatwaliddwa e Kyamulibwa, wabula bakwataganye ne bakwatibwako ebigezo ne bikomezebwawo.

Disitulikiti y’e Kalungu abayizi abasoba mu 5,300 bebatudde ebigezo bya PLE 75.