Amawulire

Wabadewo akalipagano kébidduka oluvanyumwa lwa Ssezibwa okufuna enjatika

Wabadewo akalipagano kébidduka oluvanyumwa lwa Ssezibwa okufuna enjatika

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2023

No comments

Bya Fred Muzale,

Wabadewo akalippagano k’ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mukono oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) okukyusa entambula okuva ku lutindo lwa Ssezibwa olwazeemu enjatika.

Ku wiikendi, ekitongole kya UNRA kyalemesezza mmotoka ennene okukozesa olutindo lwa Ssezibwa olumaze emyaka 70 ku luguudo oluva e Kalagi okudda e Kayunga.

Kino kyaddiridde olutindo olwawula Kayunga ku Mukono okujaamu enjatika ate ekitundu ku ludda lw’e Kayunga ne kigwamu,  ekintu ekyobulabe eri abakozesa olutindo luno.

Kati UNRA yawadde abavuzi b’ebidduka okuva e Jinja amagezi okukozesa oluguudo lwa Kampala- Jinja oluweza kiromita 72 oba mu ngeri endala bakozese oluguudo lwa Njeru –Kisoga –Mukono.

Okusinziira ku musasi waffe Fred Muzale, emmotoka entono zokka ezikoma ku lane emu ze zikkirizibwa okukozesa olutindo luno.

kati loole ennene zonna zikozesa oluguudo lwa Kampala- Jinja okuli omugoteko ekyongedde okusajula embera ye byentambula

Olutindo Ssezibwa gwazimbibwa mu 1953 gavumenti y’amatwale kyokka okuva olwo tewali kuddaabiriza kwa maanyi okuggyako okusiigibwa langi.

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Kayunga Andrew Muwonge agamba nti amakubo amalala gawanvu era n’ebitundu ebimu ng’oluguudo lwa Kyampisi okudda e Namataba biri mu mbeera eyeenyamiza.

Muwonge agamba nti embeera eno eyolekedde okukosa abasuubuzi mu disitulikiti naddala abasuubula ennaanansi, ebijanjaalo, kaawa n’omuwemba e Kayunga