Amawulire

Wabaddewo okudirira mu bigezo bya UBTEB

Wabaddewo okudirira mu bigezo bya UBTEB

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekitongole kyebigezo byemikono, Uganda Business and Technical Examinations Board bategezezza nga bwewabaddewo okudiririra mungeri abayizi bwebakoze ebigezo byomwaka 2020.

Bwabadde afulumya ebigezo bino ku wofiisi zekitongole e Ntinda, Ssabawandiisi wa UBTEB Onesmus Oyesigye agambye nti abayizi omutwalo 1 mu 6,144 bebewandiisa naye omutwalo 1 mu 5,019 bokka bebalabikako okutuula.

Ku bayizi abatuula, omutwalo 1 mu 1,334 nga byebitundu 75% bayise ate 3,685 nebagwa.

Wabaddewo okudirira, bwogerageranya ku bayizi abayita mu mwaka gwa 2019 nenjawulo ya 3%.

Mu mwaka ogwo, abayizi 78% bebayita

Oyesigye kino akitadde kungeri ssenyiga omukambwe, gyeyakosaamu emirimu gyokusoma.