Amawulire

VP Alupo asabye abakyala bayambibwa okuba nóbuggaga

VP Alupo asabye abakyala bayambibwa okuba nóbuggaga

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Omumyuka w’omumkulembeze we ggwanga Jessica Alupo, asabye ab’ebyokwerinda okukuuma ebintu byabakyala bwekiba nti banaatuuka ku nkulakulana.

Bino abyogeredde mu lukungaana olwa National Gender Forum mu Kampala, nagamba nti tewali muntu asaanye kugibwako lukusa kuba nabintu bibwe nga nabakyala mwobatwalidde.

Azzeemu nateegeza nga gavt bweri emmalirivu okunyweza enkola eyomwenkanonkano kuba kye kimu ku birubirirwa byomwaka 2040 ne tteeka lya gavt erya Public Finance Management Act 2015 eriragira nti ebitongole bya gavt byonna birina okubaamu omwenkanonkano eri abakyala na baami.

Olukungana luno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti okulwanyisa embeera zonna ezobusosoze olwekikula kyomuntu.