Amawulire

Uwera yatta bba- Gavumenti

Ali Mivule

July 25th, 2014

No comments

Nsenga new

Oludda oluwaabi lusabye  kooti enkulu mu kampala okusingisa omusango gw’ettemu omukyala eyatomera bba n’amutta.

Jaqulie Uwera Nsenga yatomera bba n’amutta era ng’oludda oluwaabi lulumiriza nti yakigenderera yadde nga yye avunaanibwa agamba nti teyagenderera.

Nga bakulembeddwaamu Suzan Okalany, bannamateeka ba gavumenti bawaddeyo obujulizi obulaga nti Uwera yakoona bba mu bugenderevu

Bagambye nti omusajja eyattibwa Juvenile Nsenga nga tannaba kufa, yategeeza abaali bamujjanjaba nti mukyala we y’amwettidde ate mu maka gaabwe

Juvenal Nsenga omusuubuzi mu kibuga yattibwa mu January w’omwaka oguwedde mu maka gaabwe e Bugoloobi bweyali amuggulira

Bannamateeka b’omugenzi bagambye nti omugenzi yalina embiirizi ezibebentuse n’okumu ku matu ge nga kukutuseeko ekiraga nti eyamutomera yali avuga ndiima akitasoboka kubeera waka ng’omuntu ayingira mu kikomera

Bano nno balumiriza nti abafumbo bano baalina obutakkanya era ng’obwaagaazi bw’ebintu bwazaala leenya

Kkooti yakuddamu okutuula ku lw’okusatu okwongera okufundikira omusango guno.