Amawulire

URA ewezezza emyaka 30

URA ewezezza emyaka 30

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekitongole ekiwooza kyomusolo mu gwanga, Uganda Revenue Authority benyumiriza mu musolo gwebakungaanya ogweyongedde.

Bagamba nti wabaddewo okweyongera okuva ku buwumbi 180 nga bwegwali mu 1991 kankano okudda ku bwesedde 19 mu mwaka gwebyensimbi 2020/21.

Buno bwebubaka obuvudde mu kitongole kino, nga bajaguza emyaka 30 okuva URA etondebwawo.

Akulira ekitongole kino, kamisona General John Musinguzi, agambye nti wetwogerera ngekirubirir kyabwe kwekuvujirira embalirirra yegwanga yona 100%.

Musinguzi agambye nti bingi ebitukiddwako ngekitongole mu myaka 30 okuli obwesige bwa gavumenti okusolooza omusolo nobwerufu.

Wabula Musinguzi asabye bannaYuganda bonna okuwagira ekitongole kino.

Kati bategese okusaaba okwokwebaza Katonda, nga kugenda kubeera ku kisaawe e Kololo nga kusubirwa okwetabwako omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni.

URA yatondebwawo mu mateeka, nga 15 mu Sebutemba wa 1991.